Yazaalibwa makka, ayina diguli mu misomo gya kulaani, mu muteeko gw'obusomesa e jidda, era yomu kuba imamu b'emizikiti e jidda mu saudi arabia.
Muhammad ibn Swaleh Almunajjid: mukoowoze alina obujajja e syria, yazaalibwa nga 30/12/1380 A.H, yakulira mu Riyadh n'asomera mu Saudi Arabia, yasoma ku bamanyi abenjawulo, mubo ye Sheikh ibn baaz ne Sheikh ibn Uthaymin
Pulofesa wa misomo gya hadiith za nabbi mu yunivasite ya Darul uluum mu kitundu kye diyobandi mu buyindi, Ye mukulu w'ekitongole ky'abamanyi e buyindi -Ekitongole ky'obusiraamu ekisinga obunene n'obukadde eky'amaanyi
Yazaalibwa 19-4-1986 mu kifo Al-a'adhwamiyya mu baghdad e Iraq, Yali -Allah amusaasire- mu basomi era abakugu bamateeka ga kulaani abayiraaka, yeetaba mu mpaka za kulaani ezenjawulo era yafiira mu baghdad nga 26-5-2007 mukwenganga Amagye gabamerika. Tusaba Allah atutuuse ku madaala gabazira n'abogera amazima(abamanyi).
Naaswir mutabani wa Ali Alqitwaami, nzaalwa ya mukibuga kya Riyadh. Okusoma kwe: Diguli mu misomo gy'obusiraamu. Mukiseera kino asoma masters mu misomo gya kulaani